Kibi Kaganda

Share this article

Omubiito Kibi Kaganda Yaani?

Omubiito Kibi Kaganda yaani? Yye abaffe, yali mulongo wa Ssekabaka Kimera nga bwekinoonozebwa?

Omulangira Kibi Kaganda mwana wa Ssekabaka Chwa Winyi Male Wasswa era nga yafuga Kiziba nga bweyali enkola ya Chwa Male Winyi okusindika abbana gigbe okfluga ebitundu ebyamuli ewala; Ebitabo bingi biwandikiddwa naddala ekitabo ekiyitibwa “Olulyo lwa Ssekabaka Kibi Kaganda e Bunkabira mu Busiro” nga kyawandikibwa Abalangira Njobe John Goloba Walugembe, Jjuuko Bwetunga Musese John Max ne Kayemba Gyaviira Musoke Bikwalira ku muko namba 7 akatundu 3 nga kiraga nti Kibi Kaganda ne Kimera Wakyama By omere Bisaato balongo era nga bazalibwa Omulangira Kalemeera Mutikizankumbi eyali agenze okukola olufubanje e Bunyoro n’omuzaana Wannyana; kino si kituufu olw’ensonga zino; Omulaangira Kalemeera tabangako Ssalongo n’olwekyo Kimera Bisaato Byomera Wakyama tasobola kubeera mulongo.

Mu nnono n’obuwangwa abalongo basibwa era empumumpu zaabwe zikumwa naye teri w’osobola kusanga Mpumumpu ya Kimera na Kibi Kaganda
Omutaka Mugema Katumba wamu n’emukyala we Namudunduli be baakuza Kimera oluvannyuma lw’omujja mu kibumbiro wannyana gyemuzazika; tewali bujjulizi nti balonda abaana babiri.
Ssekabaka Winyi Chwa Male Wasswa yazaala Kibi Kaganda era nga taata omuto owa Kalemeera Mutikizankumbi kubanga azzalwa Ssekabaka Chwa Nabakka Mugandawe, n’olwekyo Kimera Bisaato Byomere Wakyama tasobola kubeera muganda wa Kitaawe omuto (Kibi Kaganda)
Abalongo ba balangira na ddala ba Ssekabaka bakumwa bulungi nga bwetulaba nga naba Ssekabaka Kintu n’olwaleero bakyakumibwa mu Lubiri lwa Omutaka Kirulu Bweenga, naye aba Ssekabaka Kimera Bisaato Byomere Wakyato bali ludda wa?
Ebitabo byonna ebiggundivu eby’ogera ku byafaayo bya Buganda ebikusike, tewali muwandiisi n’omu yali awabye nayita Kimera Omulongo.

Omutaka Nsamba ow’engabi e Buwanda, Omwana wa Wannyana gweyaziaala nga tanafumbirwa Ssekabaka Chwa Male Winyi Wasswa talina Baganda be (abaana ba maamawe) balongo ate nga Kimeera Bisaato Byomere, Ssababiito akulembera abalangira n’abambejja abasibuka mu Ssekabaka Chwa Winyi Male Wasswa, Kibi Kaganda amumanyi nga muzzukulu we atabangako mulongo, n’olwekyo kisaana kitegerekeke bulungi nti ennono n’obuwangwa bingi bimeruseewo olwa kibinja oba abantu bassekinoomu okwenonyeza ebyabwe naddala obuyinza, ekitibwa wamu n’obugagga. Ekizaamu amaanyi kiri nti ennono n’obuwangwa ne bazzukulu baabwe bwewabaawo obwetaavu okusobola obutawubisibwa kuvu nnono ntuufu.

Okusinzira ku byafaayo bya Ssekabaka Winyi Chwa Male Wasswa ebikusike, Kibi Kaganda mwanawe ate era muganda wa Chwa Nabakka ng’ono yazaala Ssekabaka Kimera Bisato Byomere Wakyama. Okusinzira kunyinyola eno, Kimera ayita Kibi Kaganda Taatawe omuto. N’olwekyo obulongo buliwa ng’omu ayita munne Taata.

Mu biseera bya Ssekabaka Chwa 1 Nabbaka, Abaganda tebaalina mayembe, era nga beesiganga balongo era nga bawebwa nnyo ekitiibwa. Lwaki bano tebasibwa?
Namasole Wanyana gyaali e Bumera nebwaba avunuse tayogerangako nti ye Nnalongo.
Omuzaana okusinziira ku byafaayo by’ekibulala azaala Kibi Kaganda ye Nawaaki Nnyumbambi era yali muto wa Muzaana Wanyana ate azaala Kimera Bisaato Byomere ye Wannayana. N’olwekyo kiri giraasi tebasobola kubeera balongo.

Bisimbuzibbwa ku kitabo kya Ssababiito wa Kibulala, Walugembe Samuel (2019)