Olulyo olulangira lwalinga wanu naye oluvanyuma n’elweyawula ku mulembe gwa Daudi Chwa. Kino kyava ku kukuboolangana wakati wa balangira abasibuka mu Kato Chwa Nabakka n’abo abasibuka mu Wasswa
Bano wammanga beba Ssababiito abakaawo
Ssababiito Walugembe Kateregga wetuwandikidde bino nga yaakamala emyaka 13 ku ntebe y’obwa Ssababiito
Ssababiito Wasaija Nasani: Ono yamala ebanga ttono kuba yalwaala nga wayise ebanga tono ku bukulu buno
Ssababiito Kateregga Daudu: Yamanyika nnyo olw’obukozi bwe n’obuteryantama bwewaberangawo ebitagenda bulungi nadala e Mengo
okaana Tebandeke Katwesigwa: Yali wakubiri era ono yali mukwano nnyo gwa Ssekabaka Daudi Chwa era yeyali omuwandiisi we ow’ekyama
Ssababiito Kitayimbwa: Ono yeyasooka ku mulembe gwa Ssekabaka Daudi Chwa era Ssekabaka oyo yeyayawula entebe y’obwa ssababiito kuya Ssabalangira