Ebyafaayo Bya Ssekabaka Winyi Chwa Male Wasswa.
Obuzaalibwa bwa Winyi
Ssekabaka Winyi Chwa Male Wasswa ye Kabaka wa Bunyoro ow’okuna nga yazalibwa Ssekabaka Kintu wamu ne balongo banne omuli Chwa Nabaka Kato, Kasagama Kizza ow’e Tooro wamu ne Nassolo Nakayima Kiyini Kibi (Kijjukirwa Malima) Bulwanyi era nga nnyabwe ye Nambi Nantutululu, Muzzukulu wa Kasujja (yeddira Ngeye). Newankubadde mu baana ba Kintu abo bebaasinga okumanyika n’okufuna ettuttumu , waliwo abaana abalala omuli Nangooma e Buluuli ne Lukidi Mpuga.
Nangoma mumbejja mukulu nnyo olw’ensonga nti kitaawe gw’eyakwasa obuvunanyizibwa obw’okulembera ennono n’obuwangwa era ng’omulimu guno gusasanira Obuganda, Bunyoro, Tooro ne Busoga.
Lukidi Mpuga Isingoma ye Kabaka wa Bunyoro eyasooka n’ewankubadde abawandiisi bangi ab’ebyafaayo betoloolera nnyo ku Chwa Nabakka Kato kubanga yeyalya engoma oluvanyuma lwa Kintu okubula.
Winyi Alya Entebbe
Ssekabaka Winyi Chwa Male Wasswa bweyakula, naava ewa kitaawe nagenda naalya engoma e Bunyoro era nga wakuna mu nsengeka zaba Kabaka ba Bunyoro.
Olubirilwe yalukuba Kibulala mu Ssingo. Mukiseera ekyo ekitundu kino eky’eKibulala kyali Bunyoro. Chwa Male Winyi yawagira nnyo kitaawe kubanga obukulembeze mu kiseera kyo bwali bukyali mu mikono gya Bachwezi.
Abaana ba Winyi
Winyi Omutonzi ya mugemulira ezadde, era mu nkola ye, abaana be yabasindikanga mu bitundu bya Bunyoro eby’enjawulo okuyambako mu bukulembeze. Mubano mwemwali bano;
a) Kamuswaga e Kooki. Kamuswaga n’okutuuka kati waali nga aliwo mu kifundikwa ye Appolo Kabumbuli 2 Sansa.
b) Kamuswaga Kibi Kaganda e Kiziba omuva abalangira ab’esanje
c) Pokino mu Buddu era nga Pokino kigambo kya Lunyoro ekitegeeza mufuzi avunanyizibwa ku kitundu ekinene, era Buddu bwe yawangula Ssekabaka Jjunju (1780-1797) erinnya lino ne’elifuuka oly’omwami wa Kabaka afuga essaza lino na buli kati.
d) Namuyonjo e Bugerere.
Abaana ba Winyi abo beebakola emituba egikola akasolya ka Ssababiito.