Twafuna Abaagala Okumanya Kululyo

0
Share this article

Olugendo lwaffe lutambudde bulungi ddala bwe nkulembeddemu ababaka baffe e Bungereza ne Ireland abakulembedwamu Owek. Ssalongo Kibuuka Geoffrey okugenyiwalako ku Butaka/ Embuga ya Ssaababiito e Kibulala mu Ssingo.

Twaniriziddwa bulungi Abalangira omuli n’Abemituba n’Abambejja nga bakulembedwaamu Ssaababiito Walugembe Samuel.

Tufunye ku byafaayo ebikwata ku Lulyo luno, enteekateeka z’okwekulaakulanya, okulambuzibwa Embuga ez’enjawulo kko n’okugabulwa ekijjulo Makeke.

Twebaza nnyo Ssaababiito n’ABazzukulu olw’enteekateeka ennungi esobodde okujjayo amakulu g’Obutaka obuggumidde.

About Author

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *